Deuteronomy 28:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olifuuka ekintu ekiwuniikiriza, eky'okunyumyako n'eky'okusekerera mu mawanga gonna Omukama gy'alikugobera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olifuuka ekintu ekyesisiwaza, ekinaanyoomebwanga era ekinaasekererwanga mu mawanga gonna Mukama gy’anaabanga akulazizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nsi Mukama gy'anaabanga akuwaŋŋangusirizza, abantu baamu baneewuunyanga ekikutuuseko ggwe, n'owemuka ne bakusekerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsi Mukama mw'anaabanga abatutte, abantu baayo baneewuunyanga ekibatuuseeko mmwe, ne muwemuka era ne musekererwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoofuukanga ekyewuunyo, olugero, n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna Mukama gy’anaakutwalanga.