Deuteronomy 28:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olisimba emizabbibu, naye toliginywako vviini, toliginogako bibala, kubanga envunyu zigenda kugirya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoosimbanga essamba z’emizabbibu n’ogisaliranga bulungi, naye toonywenga ku nvinnyo wadde okukuŋŋaanya ebibala bya zabbibu, kubanga ensiriŋŋanyi zinaabiryanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onosimbanga ensuku ez'emizabbibu, n'ozirabirira, toonywenga ku mubisi gwamu newakubadde okukungulamu ebibala, kubanga obuwuka bunaagiryanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaasimbanga ennimiro ez'emizabbibu ne muzirabirira, naye temuukungulengamu mizabbibu wadde okunywa ku mwenge gwagyo, kubanga obuwuka buligirya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onoosimbanga ensuku z'emizabbibu n'ozirima, naye toonywenga ku nvinnyo yaamu newakubadde okukungula; kubanga akawuka kanaagiryanga.