Deuteronomy 28:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde ly'olubuto lwo liriweebwa omukisa, n'ebibala by'ettaka lyo, n'ezzadde ly'ensolo zo: obuyana bw'amagana go n'obuliga bw'ebisibo byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoobanga n'omukisa n'ozaala abaana bangi, era n'oyaza ebirime, ebiraalo by'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Munaabanga n'omukisa ne muzaala abaana bangi, era ne mwaza ebirime, n'ebiraalo by'ente, n'amagana g'endiga n'embuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibala ky'omubiri gwo kinaabanga n'omukisa, n'ekibala ky'ettaka lyo, n'ekibala ky'ekisibo kyo, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo.