Deuteronomy 28:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oliba n'emiti gy'oliva wonna mu nsi yo, naye omuzigo toligweyambisa, kubanga oliva zo zigenda kukunkumuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoobeeranga n’emiti egy’emizeeyituuni mu nsi yo yonna, naye togenda kukozesanga ku mafuta gaagyo, kubanga emizeeyituuni gyo ginaakunkumukanga ne gigwa wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoobanga n'emizeyituuni mu nsi yonna; naye toosaabenga mafuta gaagyo; kubanga ginaakunkumulanga ebibala byagyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaabeeranga n'emizayiti mu nsi yammwe yonna, naye temwesiigenga ku muzigo gwagyo, kubanga ebibala byagyo binaakunkumukanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onoobanga n'emizeyituuni mu nsalo zo zonna, naye toosaabenga mafuta gaagyo; kubanga omuzeyituuni gwo gunaakunkumulanga ebibala byagwo.