Deuteronomy 28:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaliba babo, kubanga bagenda kutwalibwa mu busibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olizaala abaana aboobulenzi n’aboobuwala, naye toosigalenga nabo, kubanga banaatwalibwanga mu busibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye temulibeera nabo, kubanga balitwalibwanga mu busibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe: