Deuteronomy 28:51 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lirikavvula ezzadde ly'ebisolo byo, n'ebibala by'ettaka lyo, okutuusa lw'olizikirira. Teririkulekera ŋŋano, vviini nsu wadde omuzigo, obuyana mu magana go n'obuliga mu bisibo byo, okutuusa naawe ng'ozikiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balirya abaana b’ebisolo by’omu malundiro go, n’ebibala eby’omu ttaka lyo okutuusa lw’olizikirizibwa. Tebalikulekerawo ku mmere ya mpeke, wadde ku nvinnyo oba ku mafuta, wadde ku nnyana ez’ebiraalo byo, oba ku baana b’endiga ab’ebisibo byo, okutuusa lw’olizikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Banaalyanga ebisolo byo n'emmere gy'olimye, ne batakulekerawo ŋŋaano wadde omubisi gw'emizabbibu oba amafuta g'omuzeeyituni; wadde ente oba embuzi; n'ofa enjala n'ozikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaalyanga ensolo zammwe, n'emmere yammwe gye mulimye, obutabalekerawo ŋŋaano, na mwenge gwa mizabbibu, na muzigo gwa mizayiti, wadde ente n'endiga n'embuzi, ne mufa enjala, ne muzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
anaalyanga ebibala by'ensolo zo, n'ebibala by'ettaka lyo, okutuusa lw'olizikirizibwa: era eritalikulekera ŋŋaano, newakubadde envinnyo, newakubadde amafuta, ezzadde ly'ente zo, newakubadde abaana b'embuzi zo, okutuusa lw'alikuzikiriza: