Deuteronomy 28:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lirikuzingiza mu bibuga byo byonna mu nsi yo, okutuusa bbugwe wo akoma eyo waggulu, aliko n'ebigo, gwe weesiga, lw'aligwa ku ttaka. Lirizingiza ebibuga mu nsi yonna Omukama Katonda wo gy'alikuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaazingizanga ebibuga byo byonna mu nsi yo yonna okutuusa ebisenge ebiwanvu eby’ebigo bye weesiga lwe birigwa wansi. Banaazingizanga ebibuga byonna mu nsi yonna Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era banaakuzingizanga mu bibuga byo byonna ebiwanvu era ebigumu bye weesiga, ebiri mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwadde, ne babimenyaamenya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaabazingizanga mmwe mu bibuga byammwe byonna, mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawadde, ebigo byammwe ebigulumivu era ebigumu bye mwesiga ne bigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anaakuzingizanga mu miryango gyo gyonna, okutuusa enkomera zo empaavu eziriko ebigo ze weesiga lwe zirigwa mu nsi yo yonna: era alikuzingiza mu miryango gyo gyonna wmu nsi yo yonna, Mukama Katonda wo gy'akuwadde: