Deuteronomy 28:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okukuzingiza kugenda kukuleetera obuyinike n'ennaku otuuke n'okulya ezzadde ly'olubuto lwo, ennyama y'abawala bo ne batabani bo Omukama Katonda wo b'aliba akuwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubonaabona abalabe bo kwe banaakutuusangako nga bakuzingizza, onoolyanga ebibala by’olubuto lwo, ennyama ya batabani bo ne bawala bo Mukama Katonda wo b’anaabanga akuwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukuzingizibwa ne mukunyigirizibwa abalabe, onoolyanga abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo baakuwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe bammwe, munaalyanga abaana bammwe, ennyama ya batabani bammwe ne bawala bammwe Mukama Katonda wammwe be yabawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoolyanga ebibala by'omubiri gwo ggwe, ennyama y'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo b'akuwadde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa abalabe bo kwe banaakuziyizanga;