Deuteronomy 28:54 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja omugonvu ennyo era ow'eggonjebwa mu mmwe alikalalira muganda we, ne mukazi we ow'omu mikono gye, n'abaana be abaliba bakyasigaddewo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja asingira ddala obuntubulamu era omuwombeefu mu mmwe, taasaasirenga na muganda we yennyini, oba mukyala we omwagalwa, oba abaana be abanaabanga bakyasigaddewo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, bwalituuka okulya abamu ku baana be, ku nnyama eyo taliwaako muganda we, oba mukazi we omuganzi, wadde abaana be abakyaliwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, anaatunuuliranga bubi muganda we ne mukazi we gw'ayagala ennyo n'abaana be abalamu b'akyasigazizzaawo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja omugonvu mu mmwe era omwenaanyi ennyo, eriiso lye linaabanga bbi eri muganda we n'eri omukazi ow'omu kifuba kye, n'eri abaana be abasigadde abakyaliwo: