Deuteronomy 28:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga tabagabirako na ku nnyama y'abaana be gy'aliba alya, kubanga takyalinawo kalala konna n'olw'obuyinike n'ennaku omulabe wo by'aliba akutaddemu olw'okuzinda ebibuga byo byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
taawengako n’omu ku nnyama y’abaana be b’anaabanga alya. Kubanga nga takyalina ky’asigazza kyonna mu kubonaabona okungi omulabe wo kw’anaabanga akutuusizzaako ng’akuzingirizza mu bibuga byo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olw'obutabaako ky'alya kirala kyonna, ku nnyama y'abaana be banaalyanga, taliwaako muntu mulala yenna, olw'okuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe kw'anaabangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atabaako n'omu ku bo gw'awa ku nnyama ya baana be b'anaalyanga, nga talina kirala ky'alya mu kuzingizibwa, ne mu kunyigirizibwa abalabe bammwe kwe munaabangamu mu bibuga byammwe byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'obutawa n'atawa muntu yenna ku bo ku nnyama y'abaana be b'anaalyanga nga taliiko ekimusigalidde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo gyonna.