Deuteronomy 28:56 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi omugonvu era ow'eggonjebwa mu mmwe, olw'eggonjebwa n'obugonvu nga taganya na kigere kye kulinnya ku ttaka, alikalalira bba ow'omu mikono gye, ne mutabani we ne muwala we,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi asinga obuntubulamu n’eggonjebwa mu mmwe, nga mwenaanyi nnyo, ataŋŋanga na kulinnyisa kigere kye ku ttaka nga kyereere, taamanyisenga bba omwagalwa, wadde mutabani we, oba muwala we,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, ataganya na kulinnya kigere kye ku ttaka; olw'okuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe, bba gw'ayagala ennyo, ne mutabani we, ne muwalawe anaabalyangako ennyama y'omwana gwe yaakazaala n'ekitanyi mu nkukutu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, ataganya na kulinnya kigere kye mu ttaka olw'empisa ze n'olw'ekitiibwa kye, anaatunuuliranga bubi bba gw'ayagala ennyo, ne mutabani we ne muwala we,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi omugonvu mu mmwe era omwenaanyi, ataganya kulinnyisa ku ttaka kigere kye olw'okwenaanya n'obugonvu, eriiso lye linaabanga bbi eri bba ow'omu kifuba kye, n'eri mutabani we, n'eri muwala we;