Deuteronomy 28:57 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekisungwa, n'abaana be b'azaala, kubanga alibaliira eyo mu nkiso olw'obuyinike n'ennaku omulabe wo by'aliba akutaddemu olw'okuzinda ebibuga byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ku mwana gw’anaabanga y’akazaala ow’omu lubuto lwe, n’abaana b’anaazaalanga. Kubanga anaabanga ategese okubalyanga mu nkukutu olw’okubulwako ekyokulya ekirala mu biseera eby’okuzingizibwa era eby’ennaku enzibu ennyo, omulabe wo by’anaabanga akutuusizzaako mu bibuga byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
anaabalyangako mu nkukutu omwana gwe yaakazaala, n'ekitanyi, olw'okubulwa eby'okulya, n'okuzingizibwa, n'okunyigirizibwa abalabe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abalyako mu bubba omwana gwe yaakazaala, era n'ekitanyi kye, olw'okubulwa ebyokulya mu kuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe bammwe mu bibuga byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'eri omwana we omuto afuluma wakati w'ebigere bye, n'eri abaana be b'alizaala; kubanga anaabalyanga nkiso olw'okubulwa ebintu byonna: mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo.