Deuteronomy 28:62 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe mu kusooka abaali benkana emmunyeenye z'eggulu obungi, kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, mugenda kusigala batono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mulisigala ng’omuwendo gwammwe gusse nnyo wansi, songa mwali ng’emmunyeenye ez’oku ggulu olw’obungi bwammwe; lwa kubanga tewagonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, ne bwe mulyala okwenkana emmunyeenye ez'oku ggulu mulikendeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe mulyala ennyo ne muba ng'emmunyeenye ez'oku ggulu obungi, abaliwonawo muliba batono, kasita mutaliwulira Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulisigalawo omuwendo gwammwe nga mutono, newakubadde nga mwali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu olw'obungi; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo.