Deuteronomy 28:63 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga Omukama bwe kyamusanyusa okubawa okwala mu bingi n'abongera obungi, bw'atyo era bw'alisanyuka okubazikiriza n'okubeerawo, muggweremu ddala mu nsi mw'ogenda okuyingira ogitwale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe kyasanyusanga ennyo Mukama okubagaggawazanga n’okubaazanga mweyongerenga obungi, bwe kityo kinaamusanyusanga okubaavuwazanga n’okubazikirizanga. Olisimbulwa n’oggibwa mu nsi gy’ogenda okuyingira okugirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga Mukama bwe yasanyuka okubakolera ebirungi n'okubaaza, bw'atyo bw'anaasanyukanga okubazikiriza n'okubasaanyaawo, okuva mu nsi gye mugenda okubeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga Mukama bwe yasanyuka okubakolera ebirungi n'okubafuula abangi, bw'atyo bw'anaasanyukanga okubazikiriza n'okubasaanyaawo, abamalewo mu nsi gye muyingira okugyefuga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga Mukama nga bwe yabasanyukirako okubakola obulungi n'okubaaza; bw'atyo Mukama anaabasanyukirangako okubazikiriza n’okubafaafaaganya; era munaggibwangako okuva ku nsi gy'oyingira okugirya.