Deuteronomy 28:64 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama agenda kukusaasaanya mu mawanga gonna okuva ku nsonda emu ey'ensi okutuuka ku ndala, eyo gy'oliweerereza balubaale ab'ebiti n'amayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n'amayinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama anaabasaasaanyanga mmwe mu mawanga gonna, okuva ensi w'etandikira okutuuka w'ekoma. Eyo gye munaasinzizanga balubaale ab'emiti n'amayinja, abaali batamanyiddwa mmwe wadde bajjajjammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna; okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n’amayinja.