Deuteronomy 28:65 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mu mawanga ago tolifuna buweerero, n'ekigere kyo teriba na we kiwummulira. Eyo Omukama alikuweerayo omutima omweraliikirivu, amaaso agafuuyiriddwa olw'okulindirira, n'omutima oguterebuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mawanga ago togenda kuweereraweererangayo wadde ebigere byo okufunirangayo ekiwummulo. Eyo, Mukama anaakuweerangayo omutima ogujugumira, n’amaaso agaagala okuziba olw’okujulirira, n’emmeeme eweddemu essuubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu mawanga ago tolisanyukirayo, tolibaako w'otereera, wabula Mukama alikuwa omutima ogweraliikirira, nga tolaba w'olaga era nga tolina ssuubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu mawanga ago, temulyesiimirayo n'akatono. Temulibaako we muteredde, wabula Mukama alibawa emitima egitateredde, nga temulaba gye mulaga era nga temulina ssuubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu mawanga ago toliraba kwesiima kwonna, so n'ekigere kyo tekiibengako we kirinnya okuwummula: naye Mukama anaakuwanga omutima ogukankana, n'amaaso agaziba, n'emmeeme ekoozimba,