Deuteronomy 28:66 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obulamu bwo bunaabanga ku bunkenke, ng'oli mu kutya ekiro n'emisana, nga tomanyi kinaakutuukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoobanga mu kubuusabuusa buli kaseera, ng’ojjudde okutya emisana n’ekiro, ng’obulamu bwo tobwekakasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emisana n'ekiro, obulamu bwo bunaabanga mu kutya n'okweraliikirira nga tomanyi kigenda kukubaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulamu bwammwe temuubwekakasengamu. Emisana n'ekiro munaabeeranga mu mutya, nga temukakasa bulamu bwammwe bwe bunaabeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'obulamu bwo bunaabuusibwabuusibwanga mu maaso go; era onootyanga emisana n'ekiro, so toobengako kw'otegeerera obulamu bwo bwe bunaaba: