Deuteronomy 28:67 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya ng'ogamba nti: ‘Singa nno buzibye,’ n'akawungeezi nti: ‘Singa nno bukedde,’ olw'okutya okuliba mu mutima gwo, n'olw'ebyo by'oliba olabye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu makya onoogambanga nti, “Singa nno bubadde kiro!” Ate ekiro ng’ogamba nti, “Singa nno bubadde makya!” olw’okutya okunajjulanga mu mutima gwo, n’ebyo amaaso go bye ganaalabanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku nkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era n'akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'ebyo by'onoolabanga n'olw'okutya okungi n'okweraliikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku makya munaagambanga nti: ‘Singa nno bubadde kawungeezi!’ Akawungeezi ne mugamba nti: ‘Singa nno bubadde ku makya!’ Ebyo munaabyogeranga olw'emitima gyammwe okwekengera buli kye mulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
enkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'okutya kw'omutima gwo kw'onootyanga, n'olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga.