Deuteronomy 28:68 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alikuzza mu Misiri mu maato mu kkubo lye nakusuubiza nti toliddamu kuliraba; eyo gye mulyetundira mu balabe bammwe mubeere baddu na bazaana baabwe, naye tewaliba abagula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaakuzzangayo mu Misiri mu kyombo, ku lugendo lwe nakugaana okuddayo okutambula. Ng’oli eyo oneewangayo weetunde ng’omuddu omusajja oba ng’omuddu omukazi, naye toofunengayo muntu n’omu akugula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alikuddizaayo mu lyato e Misiri, gye nakugamba nti toliddayo gwa kubiri. Nga oli eyo, olyewaayo eri abalabe bo bakugule ng'omuddu oba omuzaana, naye tewaliba akugula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alibaddizaayo mu maato e Misiri, gye nabagamba nti temuliddayo. Nga muli eyo, muneewangayo eri abalabe bammwe babagule mube abaddu n'abazaana, naye tewaabenga abagula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alikuzza mu Misiri nate n'amaato, mu kkubo lye nnakugambako nti Toliriraba nate mulundi gwa kubiri: era eyo mulyetunda eri abalabe bammwe okuba abaddu n'abazaana, so tewaabengawo muntu anaabagulanga.