Deuteronomy 28:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe bo abakusitukiramu Omukama alibakuwanga ne balinnyibwako awo mu maaso go; okukulumba balifulumanga mu kkubo limu, naye okukudduka balifulumiranga mu makubo musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe bwe banaakulumbanga okukulwanyisa Mukama anaakuwanga obuwanguzi. Banaafulumanga okukulumba mu kkubo limu, naye ne badduka okuva mu maaso go mu makubo musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abalabe bammwe ababalumba, Mukama anaabawangulanga nga mulaba. Banaakwatanga ekkubo limu nga bajja okubalumba mmwe, ne babadduka nga babunye emiwabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaakubiranga mu maaso go abalabe bo abakugolokokerako: banaafulumanga okukutabaala mu kkubo limu, ne baddukanga mu maaso go mu makubo musanvu.