Deuteronomy 28:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama aliwa omukisa amawanika go, na byonna emikono gyo bye gikola. Omukama Katonda wo alikuwa omukisa mu nsi gy'agenda okukuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaawanga omukisa emirimu gyo gyonna n'amaterekero go ganajjulanga emmere era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu nsi gy'akuwa okutuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye mukola, n'ajjuza amawanika gammwe. Anaabaweeranga mmwe omukisa mu nsi gy'abawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaalagiranga omukisa okuba ku ggwe mu mawanika go, ne mu byonna by'oteekako omukono gwo; era anaakuweeranga omukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.