Deuteronomy 29:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'ayita Yisirayeli yenna n'abagamba nti: “Amaaso gammwe gaalaba byonna Omukama bye yakola mu nsi y'e Misiri ku Faraawo ne ku baweereza be bonna ne ku nsi ye yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bigambo by’endagaano Mukama Katonda gye yalagira Musa okukola n’abaana ba Isirayiri nga bali mu nsi ya Mowaabu, ng’egattibwa ku ndagaano gye yali akoze nabo ku Kolebu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino bye bigambo eby'endagaano Mukama bye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, nga by'ongerwa ku bigambo by'endagaano gye yalagaana nabo ku lusozi Kolebu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eno ye ndagaano, Mukama gye yalagira Musa okukola n'Abayisirayeli mu nsi ya Mowaabu, ng'eyongerwa ku ndagaano, Mukama gye yakola nabo ku Lusozi Horebu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo bye bigambo eby'endagaano Mukama gye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, obutassaako ndagaano gye yalagaana nabo ku Kolebu.