Deuteronomy 29:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abaana bammwe, bakazi bammwe n'abagwira abali naawe mu lusiisira, okuva ku batyabi b'enku okutuuka ku abo abakukimira amazzi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli n’abakulembeze b’ebika byammwe, n’abakulu bammwe abakulembeze, n’abafuzi bammwe, n’abasajja bonna aba Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Olwaleero mwenna muyimiridde mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mu bika byammwe, n'abakulu bammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olwaleero Abayisirayeli muyimiridde mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mwenna abakulu b'ebika byammwe, abakulembeze bammwe, abafuzi bammwe, abasajja,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyimiridde leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; abakulu bammwe, ebika byammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri,