Deuteronomy 29:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olyoke oyingire mu ndagaano y'Omukama Katonda wo, endagaano Omukama Katonda wo gy'agenda okukakasa naawe agisibe n'ekirayiro,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, n’okukukimira amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abaana bammwe abato, abakazi bammwe, ne bannamawanga abali wakati wammwe, okuva ku mutyabi w'enku okutuuka ku mukimi w'amazzi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abakazi, abaana abato, n'abagwira ababeera mu mmwe ababatyabira enku era ababakimira amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaana bammwe abato, abakazi bammwe, ne munnaggwanga wo ali wakati mu nsiisira zo; okuva ku mutyabi w'enku zo okutuuka ku musenyi w'amazzi go: