Deuteronomy 29:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okukufuula eggwanga lye naye abeere Katonda wo, nga bwe yakugamba, era nga bwe yalayirira bajjajjaabo, Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oli wano okukola endagaano ne Mukama Katonda wo, ng’ekirayiro gy’ali, Mukama Katonda wo gy’akola naawe leero;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olyoke olagaane endagaano ne Mukama Katonda wo era weeyame okugituukirizanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muzze mubeere mu ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gy'akola nammwe olwaleero, ng'erimu okweyama okugituukirizanga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olagaane endagaano ya Mukama Katonda wo ne mu kirayiro kye, by'alagaana naawe leero: