Deuteronomy 29:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkola endagaano eno n'okugikakasa n'ekirayiro si nammwe mwekka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
alyoke akukakase ng’akunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
alyoke akufuule eggwanga lye, naye abeerenga Katonda wo, nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abanyweze, mube abantu be, Ye abe Katonda wammwe, nga bwe yabagamba mmwe, era nga bwe yalayirira bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
akunyweze leero gy'ali ye okubanga eggwanga, era abeerenga Katonda gy'oli, nga bwe yakugamba, era nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.