Deuteronomy 29:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Anti nammwe mumanyi nga bwe twabanga mu nsi y'e Misiri, n'engeri gye twayita mu mawanga wakati bwe mwabanga mugayitamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
sigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu n’oyo atali wano naffe leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye nammwe abayimiridde wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe era ne abo abatannaba kuzaalibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wabula agikola naffe ffenna abayimiridde wano mu maaso ge olwaleero, era n'abaana baffe ne bazzukulu baffe abatannazaalibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye eri oyo ayimiridde wano awamu naffe leero mu maaso ga Mukama Katonda waffe, era n'eri oyo atali wano wamu naffe leero: