Deuteronomy 29:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwalaba ebyenyinyalwa bye n'ebifaananyi bye ebya balubaale ebikole mu miti, amayinja, ffeeza, ne zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujjukira bulungi nga bwe twali mu nsi y’e Misiri, ne bwe twajjanga tuyita wakati mu mawanga okutuukira ddala wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mujjukira embeera zetwalimu mu nsi ey'e Misiri, era ne bwe twatambulanga okuyita mu nsi z'abamawanga amalala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mumanyi bulungi embeera gye twalimu mu nsi y'e Misiri, era nga bwe twatambula okuyita mu nsi z'ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga mumaayi bwe twatuulanga mu nsi y'e Misiri; era bwe twaggukira wakati mu mawanga ge mwayitamu;