Deuteronomy 29:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwegendereze mu mmwe muleme kubeeramu musajja oba mukazi, amaka oba ekika, omutima gwe ne guva ku Mukama Katonda waffe, n'agenda okusinza balubaale b'amawanga ago, mu mmwe ne mubaamu ekikolo ekizaala obutwa n'omususa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwalabanga ebintu eby’ekikaafiiri, nga mwe mwalinga ebifaananyi ebibajje mu miti n’ebiwoole mu mayinja ne mu ffeeza ne mu zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaananyi byabwe, eby'emiti, eby'amayinja, eby'effeeza, n'ebya zaabu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwalaba ebyenyinyalwa bye baalina: ebifaananyi, emiti, amayinja, ffeeza ne zaabu, ebyasinzibwanga mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaanaayi byabwe, emiti n'amayinja, effeeza n'ezaabu, ebyali mu bo;)