Deuteronomy 29:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ow'engeri eyo bw'awuliranga ebigambo by'ekirayiro kino ne yeenyumiikiriza mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Nzija kubeera bulungi ne bwe nnaagoberera obukakanyavu bw'omutima gwange,’ ekyandiviiramu omwonoonyi okuzikirira wamu n'ataliiko musango,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'olwekyo waleme okubaawo mu mmwe leero, omusajja oba omukazi, oba nnyumba oba ekika, akyamya omutima gwe n'ava ku Mukama Katonda waffe okusinza ba katonda b'amawanga gali, n'abanga ekimera ekikaawa eky'obutwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walemenga kubaawo musajja oba omukazi oba amaka, oba ekika, mu bali wano olwaleero, akyamya omutima gwe n'ava ku Mukama Katonda waffe, okusinza balubaale b'amawanga gali, n'aba ng'omulandira ogusibukako ekimera eky'obutwa era ekikaawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
walemenga okuba mu mmwe omusajja oba mukazi oba nnyumba oba kika, akyamya omutima gwe leero okuva ku Mukama Katonda waffe, okugenda okuweereza bakatonda ab'amawanga gali; walemenga okuba mu mmwe ekikolo ekibala akalulwe ne abusinso;