Deuteronomy 29:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama tagenda kumusonyiwa. Obusungu n'obuggya bw'Omukama birimuttunkirako; ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino bigenda kumujjira, n'erinnya lye Omukama agenda kulisangulawo wansi w'eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye singa wabaawo omuntu yenna mu mmwe abali wano leero, abawulidde ebigambo eby'ekikolimo kino, n'alowooza mu mutima gwe nti alaba bulungi, wadde nga agugubidde mu bukakanyavu bw'omutima gwe; ekyo kigenda kuzikiriza mwenna abalungi n'ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wabaawo awulira ebigambo by'ekikolimo kino ne yeekubagiza mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Nja kuba n'emirembe ne bwe nnaagugubira mu bukakanyavu bw'omutima gwange’, ekyo kiba kya kuzikiriza mwenna, abalungi n'ababi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olunaatuukanga ng'awulira ebigambo eby'ekikolimo kino, ne yeenyumiriza mu mutima gwe, ng'ayogera nti Naabanga n'emirembe ne bwe nnaatambuliranga mu bukakanyavu bw'omutima gwange, okuzikiriza oyo atobye wamu n'omukalu: