Deuteronomy 29:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amaaso gammwe mwalaba ebigezo ebinene, obubonero, n'ebikuuno ebinene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti, Mwalaba n’amaaso gammwe ebyo byonna Mukama Katonda bye yakolera mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti, “Mwalaba byonna Mukama bye yakola Falaawo n'abaweereza be n'ensi yonna ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ayita Abayisirayeli bonna, n'agamba nti: “Mwerabirako n'amaaso gammwe ebyo byonna Mukama bye yakola mu nsi y'e Misiri ku kabaka waayo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti Mwalaba byonna Mukama bye yakolera mu maaso gammwe mu nsi y'e Misiri eri Falaawo n'eri abaddu be bonna n'eri ensi ye yonna;