Deuteronomy 29:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alimulondamu mu bika byonna ebya Yisirayeli aboneebone, ng'ebikolimo by'omu ndagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky'Etteeka kino bwe bigamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa Mukama n’ekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era Mukama alisangula erinnya lye n’aliggya wansi w’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama taamusonyiwenga, naye obuggya n'obusungu bwa Mukama bunaamubuubuukirangako, n'ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulanga erinnya lye okuva ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama taamusonyiwenga. Era Mukama atayagala kuvuganyizibwa, anaasunguwaliranga nnyo omuntu oyo, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ne bimubaako, Mukama n'amusaanyizaawo ddala ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama taamusonyiwenga; naye obusungu bwa Mukama n'obuggya bwe ne biryoka binyookera omusajja oyo, n'ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulanga erinnya lye okuliggya wansi w'eggulu.