Deuteronomy 29:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abaana bammwe abalibaddirira mu mazadde agajja, n'abagwira abaliba bavudde mu nsi ez'ewala, baliraba ebibonoobono by'ensi eyo n'endwadde Omukama z'aliba agisindikidde:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaamwawulanga n’amuggya mu bika byonna ebya Isirayiri n’amubonereza nnyo, nga bwe kiri mu bikolimo byonna eby’endagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky’Amateeka kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu oyo Mukama anaamufuulanga ekyokulabirako mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'amussaako ebikolimo byonna eby'endagaano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Mukama alimufuula ekyokulabirako mu bika bya Yisirayeli byonna, n'amutuusaako akabi, ng'ebikolimo byonna eby'endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky'Amateeka bwe biri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama anaamwawuliranga obubi okumuggya mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'ebikolimo byonna bwe biri eby'endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka.