Deuteronomy 29:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi yonna eriba ddungu eryokeddwa, ya lunnyo, ebabuddwa ebibiriiti, omutasigiddwa kantu; terisobola kumeza wadde okukuza akaddo konna, ng'ezikiridde nga Sodoma, Gomorra, Aduma ne Zeboyimu, Omukama bye yazikiriza mu busungu bwe n'obuswandi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana bammwe abaliddawo ne bannamawanga abaliva mu nsi ezeewala baliraba ekibonerezo ekiriba kigudde ku nsi n’obulwadde Mukama bw’aliba aleese ku ttaka ly’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mirembe egijja, ezzadde lyammwe eriribaddirira, ne bannamawanga abanaavanga mu nsi ez'ewala, banaalabanga ebibonyoobonyo by'ensi yammwe ne ndwadde Mukama zabataddeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu mirembe egijja, ezzadde lyammwe eriribaddirira, n'abagwira abanaavanga mu nsi ez'ewala, banaalabanga ebibonyoobonyo by'ensi yammwe, n'endwadde Mukama z'agireeseemu, ne balaba
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ezzadde eririddawo abaana bammwe abaliyimuka okubaddirira, ne munnaggwanga aliva mu nsi y'ewala, balyogera, bwe baliraba ebibonyoobonyo by'ensi eyo n'endwadde Mukama z'agirwazizza;