Deuteronomy 29:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga gonna gagenda kwebuuza nti: ‘Lwaki Omukama yakola ati ensi eno? Kwesera kwa busungu nnabaki buno obungi bwe buti?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi yammwe yonna eneebanga eyokeddwa, ng'efuuse olukalaggye n'olunnyo. Eriba tekyasigibwamu kantu, nga terina ky'esobola kubaza, era nga tekyameramu muddo. Eriba ezikiriziddwa nga Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza olw'obusungu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'ensi eyo yonna eyokeddwa, ng'efuuse buganga na munnyo. Eriba tekyasigibwamu kantu, nga terina ky'esobola kubaza, era nga tekyameramu muddo. Eriba ezikiriziddwa nga Sodoma ne Gomora, Abuda ne Zeboyiimu, Mukama bye yakwatirwa obusungu n'ekiruyi n'abizikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ng'ensi yaayo yonna kibiriiti na munnyo na kusiriira, nga si nsige, so tebala, so n'omuddo gwonna tegumera omwo, ng'okusuulibwa kw'e Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yasuula mu busungu bwe ne mu kiruyi kye: