Deuteronomy 29:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagenda kwanukulwa nti: ‘Kubanga baayabulira endagaano y'Omukama Katonda wa bajjajjaabwe gye yakuba nabo, lwe yabaggya e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki Mukama akoze ekintu kino, n’akikola n’obusungu obungi butyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga gonna galyebuuza nti, Mukama ekimukozesezza ensi eno bw'ati kiki? Kiki ekyamusunguwaza ennyo bw'atyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amawanga gonna balyebuuza nti: ‘Lwaki Mukama akoze ekyo ku nsi eno? Kiki ekyamusunguwaza ennyo bw'atyo?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amawanga gonna galyogera nti Mukama ekimukozezza ensi eno bwe kityo kiki? okwokya kw'obusungu buno obungi makulu ki?