Deuteronomy 29:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basinza balubaale ne babavunnamira; balubaale be baali batamanyi, b'atabawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne balyoka baddamu nti, ‘Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu banaabaddangamu nti: ‘Kubanga baamenya endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne balyoka boogera nti Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajja baabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri;