Deuteronomy 29:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabasimbula mu nsi yaabwe ng'asunguwadde, ajjudde obuswandi, munyiivu, n'abasukkiza mu nsi endala, nga bwe kiri kaakati.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe butyo obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku nsi eyo, n’agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyeyava asunguwalira ensi eno, n'agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino;