Deuteronomy 29:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebikisiddwa biba bya Mukama Katonda waffe, naye ebibikkulibwa biba byaffe n'abaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tutuusenga ebigambo byonna eby'omu tteeka lino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama mu busungu bwe n'ekiruyi kye, n'okunyiiga okungi, kye yava abagoba mu nsi yaabwe, n'abasaasaanyiza mu nsi endala nga bwe kiri leero.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama mu busungu n'ekiruyi ne mu kunyiiga okungi, abantu be n'abasimbulayo mu nsi yaabwe, n'abakasuka mu nsi endala n'okutuusa kati.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale Mukama n'abasimbula mu nsi yaabwe, mu busungu ne mu kiruyi ne mu kunyiiga okungi, n'abasuula mu nsi endala, nga leero.