Deuteronomy 29:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyaka amakumi ana gye mmaze nga mbayisa mu ddungu, ebyambalo byammwe tebyayabirirako n'engatto z'omu bigere byammwe tezaggweerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’okutuusa ku lunaku lwa leero Mukama tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okutuusa kaakano Mukama tabawadde magezi ga kutegeera, na maaso ga kulaba, na matu ga kuwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka n'okutuusa kaakano, Mukama tabawadde mmwe mutima ogutegeera, wadde amaaso agalaba, n'amatu agawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye Mukama tabawadde mutima gwa kutegeera n'amaaso ag'okulaba n'amatu ag'okuwulira ne leero.