Deuteronomy 29:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temwalya mugaati, temwanywa vviini oba ekitamiiza. Nakikola mulyoke mutegeere nti nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, n’engatto y’omu kigere kyo teyakaddiwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange mpezezza emyaka ana (40) nga mbakulembera mu ddungu muno, so ebyambalo byammwe n'engatto zammwe tebikaddiye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka amakumi ana bukya mbakulembera mu ddungu, ebyambalo byammwe tebibayulikidde ku migongo, n'engatto zammwe tezibakutuseeko mu bigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange naakamaze emyaka ana nga mbakulembera mu ddungu: ebyambalo byammwe tebikaddiye ku mmwe, n'engatto yo tekaddiye ku kigere kyo.