Deuteronomy 29:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mwatuuka mu kifo kino; Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'ajja ne Ogi kabaka w'e Basani batulwanyise, naye twabawangula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temwalya ku mugaati wadde okunywa ku nvinnyo, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temwalyanga mmere ya bulijjo oba ekitamiiza, naye Mukama yabawanga emmaanu mulyoke mutegeere nga ye Mukama Katonda wammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temubadde na mmere gye mulya, oba omwenge ogw'emizabbibu wadde ekitamiiza kyonna kye munywa, naye Mukama yabawa bye mwetaaga mulyoke mumanye nga Mukama ye Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwalyanga ku mmere so temwanywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza: mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe: