Deuteronomy 29:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twatwala ensi yaabwe ne tugiwa ab'ekika kya Rubeni n'ab'ekika kya Gaadi, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse ebeere yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w’e Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka w'e Basani ne batulumba okutulwanyisa, ne tubatta;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe twatuuka mu kifo kino, Sihoni Kabaka w'e Hesubooni, ne Ogi kabaka w'e Basani, baasituka ne batulumba okutulwanyisa. Naye ne tubawangula,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka We Basani ne basitula okulwana naffe, ne tubatta: