Deuteronomy 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne tukyuka, ne twambuka nga tukutte ekkubo eriraga mu Basani; Ogi kabaka w'e Basani n'avaayo n'eggye lye lyonna okutusisinkana mu lutalo e Edureyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne tukyuka ne twambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi, Kabaka w’e Basani, n’afuluma n’eggye lye lyonna n’ajja okututabaala mu lutalo olwalwanirwa mu Ederei.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani. Ogi kabaka w'e Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okutulwanyisiza mu Ederei.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebyo bwe byaggwa, ne tukyuka ne tukwata ekkubo erigenda e Basani. Ogi kabaka w'e Basani ne yeesowolayo n'abantu be bonna okutwolekera mu lutalo mu Edereyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani: Ogi kabaka We Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okulwanira Ederei.