Deuteronomy 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twawamba ebibuga byonna ebyali mu museetwe, n'ensi yonna eya Gileyaadi ne Basani okutuukira ddala ku Saleka ne Edureyi, ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twatwala ebibuga byonna ebyali mu kitundu ekya waggulu ekitereevu ne Gireyaadi yonna ne Basani yonna okutuuka ku Saleka ne Ederei, ng’ebyo byali bibuga eby’omu bwakabaka bwa Ogi mu Basani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Twawamba ekitundu kyonna eky'obwakabaka bwa Ogi mu Basani; ebibuga byonna eby'omu lusenyi, n'ebitundu byonna ebya Gireyaadi n'ebya Basani, okutuukira ddala e Saleka ne Edereyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twawamba ekitundu kyonna eky'obwakabaka bwa Ogi mu Basani: ebibuga byonna eby'omu lusenyi, n'ebitundu byonna ebya Gileyaadi n'ebya Basani, okutuukira ddala e Saleka ne Edereyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebibuga byonna eby'omu lusenyi, ne Gireyaadi yonna, ne Basani yonna, okutuusa ku Saleka ne Ederei, ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani: