Deuteronomy 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
[Ogi kabaka w'e Basani yekka ye yali akyasigaddewo ku Barefa. Ekitanda kye eky'ekyuma kyalina emikono mwenda mu buwanvu ate ena mu bugazi. Kikyaliyo e Rabba mu Bammoni.]
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, n’obugazi bwa mita emu n’obutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba eky’Abamoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ogi kabaka w'e Basani ye yekka eyali akyasigaddewo ku Balefa; n'essanduuko ey'amayinja mwe baamuziika obuwanvu bwayo bwali emikono mwenda n'obugazi emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ogi kabaka w'e Basani ye yekka eyali akyasigaddewo ku Bareefa. Ekitanda kye eky'ekyuma kyali kya mita nnya obuwanvu, ne mita kumpi bbiri obugazi, mu kipimo ekitongole abantu kye baapimisanga. Ekitanda ekyo kikyaliyo mu Rabba, ekibuga ky'Abammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Kubanga Ogi kabaka w'e Basani ye yasigalawo yekka ku abo abaasigalawo ku Balefa; laba, ekitanda kye kyali kya kyuma; tekiri mu Labba eky'abaana ba Amoni? obuwanvu bwakyo emikono mwenda, n'obugazi bwakyo emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.)