Deuteronomy 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“N'eyo ensi ne tugitwala. Ebitundu ebyo ne mbiwa ab'ekika kya Rubeni n'ekya Gaadi okuva ku Aroweri, ekiri ku lubalama lw'Ekiwonvu Arunoni, n'ekitundu ky'ensozi za Gileyaadi n'ebibuga byamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe twamala okwetwalira ebitundu by’ensi ebyo bye twawangula mu kaseera ako, ne ngabira Abalewubeeni n’Abagaadi ekitundu ekyo ekiri ku bukiikakkono okuva ku Aloweri n’okugendera ku mukugiro gw’Ekiwonvu kya Alunoni, n’ekitundu ekyamakkati eky’ensi y’ensozi eya Gireyaadi, awamu n’ebibuga byamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu biro ebyo ensi eyo ne tugiwangula ne tugituulamu. Abalewubeeni n'Abagaadi ne mbawa ekitundu okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe twefuga ensi eyo mu biseera ebyo, ne mpa Abarewubeeni n'Abagaadi ekitundu ekitandikira ku Aroweri, ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu Arunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi ez'e Gileyaadi, n'ebibuga byamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensi eyo ne tugirya mu biro ebyo: okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byayo n'abiwa Abalewubeeni n'Abagaadi: