Deuteronomy 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yayiri muzzukulu wa Manasse yafuna ensi ya Arugobu yonna okutuuka ku nsalo n'Abagessuri n'Abamaakati, n'atuuma Basani erinnya lye Kavvoti-Yayiri, era bwe kikyayitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayiri, ava mu Manase, yafuna ekitundu kyonna ekya Alugabu, era ye Basani, nga kyerambulula okutuukira ddala ku nsalo ey’Abagesuli n’Abamaakasi; n’akibbulamu erinnya lye, n’okutuusa leero ensi Basani eyitibwa Kavosu Yayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yayiri, mutabani wa Manase, n'atwala oluuyi lwonna olwa Alugobu okutuuka ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi. Ebyalo ebyo byonna n'abituuma Basani, erinnya lye, era bimanyiddwa ng'ebyalo bya Yayiri n'okutuusa leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yayiri ow'omu Kika kya Manasse n'agabana ekitundu kyonna eky'e Arugobu, kye ky'e Basani, okutuukira ddala ku nsalo n'Abagesuri n'Abamaaka. Ebyalo ebyo byonna n'abituuma erinnya lye, era bimanyiddwa ng'Ebyalo bya Yayiri n'okutuusa kati.)
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yayiri mutabani wa Manase n'atwala oluuyi lwonna olwa Alugobu okutuuka ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi; n'agituuma ye Basani, ng'erinnya lye bwe lyali, Kavosuyayiri, okutuusa leero.)