Deuteronomy 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ab'ekika ekya Rubeni n'ekya Gaadi ne mbaawuliza ku nsi okuva e Gileyaadi okutuuka ku Kiwonvu Arunoni, n'okweyongerayo okutuuka ku Kiwonvu Yabboki ekikola ensalo n'Abammoni:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalewubeeni n’Abagaadi ne mbagabira ekitundu ky’ensi ekiva ku Gireyaadi okuserengeta mu Kiwonvu kya Alunoni, nga mu makkati gaakyo ye nsalo, n’okutuukira ddala ku mugga Yaboki ogw’ensalo n’Abamoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekika kya Lewubeeni n'ekika kya Gaadi ne mbiwa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ng'amakkati g'ekiwonvu ye nsalo mu bukiikaddyo, ate Omugga Yabboki nga ye nsalo n'Abamoni mu bukiikakkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abarewubeeni n'Abagaadi ne mbawa ekitundu okuva ku Gileyaadi okutuuka ku Kiwonvu Arunoni, ng'amakkati g'Ekiwonvu ye nsalo mu bukiikaddyo, ate Omugga Yabboki nga ye nsalo n'Abammoni mu bukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'Abalewubeeni n'Abagaadi ne mbawa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ekiwonvu ekya wakati, n'ensalo yaakyo; okutuusa ku mugga Yaboki, ye nsalo y'abaana ba Amoni;